2 Kings 9:7-10

7 aOlizikiriza ennyumba ya Akabu mukama wo, nga mpalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaddu ba Mukama bonna, Yezeberi gwe yayiwa. 8 bEnnyumba yonna eya Akabu erisaanyizibwawo, era ndizikiririza ddala buli mwana wabulenzi, oba muddu oba wa ddembe mu Isirayiri. 9 cNdifuula ennyumba ya Akabu okuba ng’ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, era n’okufaanana ng’ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya. 10 dN’embwa ziririira Yezeberi mu kibanja eky’e Yezuleeri era tewaliba muntu n’omu amuziika.’ ” Oluvannyuma olw’okwogera ebyo n’aggulawo oluggi n’adduka.
Copyright information for LugEEEE